Alipoota eraga nti abantu 19 bafiiridde mu kabenje k’ennyonyi olunnaku olw’eggulo ku Ssande nga 6, November, 2022.

Ennyonyi ya Tanzania yagudde mu nnyanja Nnalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria era abantu 19 bafiiriddewo mu kabenje k’ennyonyi.

Ennyonyi yabaddeko abantu 43 era 24 bataasiddwa nga yabadde evudde ku kisaawe kye Bukoba.

Kigambibwa akabenje kaavudde ku mbeera ya budde.

Richard Komba omu ku baasimatuse okufa, agamba nti enkuba yabadde etonnya nnyo era okuwunzika nga bali mu nnyanja.

Akabenje

Komba agamba nti amazzi okuyingira munda, gasoose kutta abantu abatuula mu maaso g’ennyonyi, oluvanyuma kwe kulumba abali emabega kyokka abamu baasobodde okuwuga.

Ssaabaminisita wa Tanzania Kassim Majaliwa agamba nti abali mu ddwaaliro bali mu mbeera nungi naye bakyalimu okutya olw’embeera eyaguddewo.

Ssaabaminisita Majaliwa agamba nti balina okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje.

Mu kiseera kino ekisaawe ky’ennyonyi ekya Bukoba airport runway kigaddwa okumala akaseera akatali kagere.

Pulezidenti Samia Suluhu Hassan asaasidde famire z’abantu abaafiridde mu kabenje era agamba nti Gavumenti etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Ennyonyi eyafunye akabenje yabadde ava Dar es Salaam okudda mu bitundu bye Bukoba ng’erina kuyita Mwanza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6WMr-w3TvYE