Ssewanyana, Ssegirinya tebinaggwa….
Abamu ku bantu abaakwatibwa ne baggalirwa ku misango gy’okutta abantu e Masaka, Kayinke Jackson ne Sserwadda Mickie, basabye kkooti enkulu mu Kampala ewuliriza emisango gya bakalintalo okuyingira mu nsonga zaabwe nga baakwatibwa ku misango gye batamanyi.
Bano, bagamba nti baakwatibwa olw’okutambula mu ssaawa za kafyu wakati mu kulwanyisa Covid-19, nga kyewunyisa okubaggulako emisango egy’okutta abantu e Masaka.
Mu bijjambiya ebyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana omwaka 2021, abantu abasukka 20 battibwa n’okusingira ddala abakadde.
Wabula ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu ab’enjawulo omuli omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana, Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’abalala ku misango gy’okutta abantu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okugezaako okutta abantu ssaako n’emisango emirala.
Enkya ya leero, mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi, bannamateeka babasibe nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa Kampala Malende Shamim, basabye omulamuzi Komuhangi okuyimiriza omusango okweyongerayo nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka okugaana okubawa obujjulizi, obuneesigamwako mu kutambuza omusango ssaako ne kkomera e Kigo, okubalemesa okulaba abasibe nga bekwasa okutangira Ebola, okuyingira ekkomera.
Wadde Birivumbuka asuubiza okuwaayo obujjulizi obutasukka Lwakusatu lwa sabiiti eno nga 9 omwezi guno ogwa November, nga n’omulamuzi abalagidde okudda mu kkooti nga 5, omwezi ogujja ogwa Desemba, Malende agamba nti Kayinke ne Sserwadda, okuvaayo okulaga nti baakwatibwa ku misango gya kafyu, kabonero akalaga nti bali kugingirira misango, Ssegirinya ne Ssewanyana okubasiba ku misango gye batamanyi.
Mu kkooti, Birivumbuka era agamba nti wadde muwaabi wa Gavumenti, afuna okutiisibwatiisibwa olw’omusango gwa Ssewanyana ne Ssegirinya.
Bukya bakwatibwa, bakulungudde ku limanda mu kkomera e Kigo, ebbanga erisukka omwaka omulamba, ekyongedde okutabula bannamateka, famire ssaako n’abalonzi mu Konsituwensi zaabwe, abetaaga obuweereza.
Ebiri mu nsi ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=f_VPQzj_lto