Omukyala aswadde mu maaso ga bba, akwatiddwa lubona ng’ali mu kaboozi n’omusajja mu kisenge ky’abaana.
Omusajja agamba nti abadde afuna amawulire nti mukyala we alina abasajja abalala kyokka abadde akiwakanya olw’omukwano omukyala gw’alina.
Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande, omusajja yavudde awaka oluvanyuma lw’okutegeeza omukyala nti yabadde afunye olugendo.
Kabiite yasobodde okuteekerateekera bba, okugenda ku mirimu kuba yabadde afunye omukisa omulala okuddamu okuleeta abasajja mu nnyumba.

Kigambibwa ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, omukyala yaleese omusajja mu nnyumba ali mu myaka 40 wakati mu laavu.
Wabula wakati mu kusinda omukwano, ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, ssemaka yakomyewo kuba yabadde amaze okufuna amawulire nti omukyala aleese omusajja omulala mu nnyumba.
Ssemaka yasobodde okweyambisa omu ku balenzi abakola emirimu gy’awaka, okufuna amawulire ku bikwata ku mukyala we.
Okutuuka mu nnyumba, nga mukyala we ali mu kaboozi n’omusajja mu kisenge ky’abaana wakati mu ssanyu.
Mu kusooka, ssemaka yaweddemu amaanyi kuba mukyala we abadde tasuubira nti ayinza okudda mu bwenzi kyokka oluvanyuma yafunye embavu, okugenda mu kisenge ky’abaana.
Oluvanyuma lwa ssemaka okusanga mukyala we ng’ali mu kikolwa, omusiguze yasobodde okudduka nga n’omukyala ali mu maziga nti ‘Daddy am sorry, just accept my apology’.
Ssemaka yalagidde mukyala we, okuva mu makaage, kuba kati alina omusajja omulala era wadde omusiguze yadduse, ssemaka yamusabye okudda okutwala mukyala we.
Amawulire galaga nti ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, emmotoka y’omukyala yalabiddwako ng’efuluma ggeeti kuba omusajja yabadde amugobye.
Obwenzi abadde abukolera mu maka gaabwe mu bitundu bye Chembe mu ggwanga lya Zambia.
Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=yix8dFWIPSU&t=113s