Omubaka omukyala ow’e Kayunga Ida Erios Nantaba, awanjagidde Palamenti okuyingira mu nsonga z’omuwala Lydia Aliba omutuuze mu disitulikiti y’e Kayunga, eyafiiridde mu ggwanga lya Saudi Arabia sabiiti ewedde.

Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Annet Anita Among, Nantaba agamba nti famire ekyasobeddwa ku kyavuddeko muwala waabwe Aliba okufa.

Nantaba agamba nti ebyavudde Saudi Arabia ebitali bitongole, biraga nti Aliba yafudde kabenje kyokka yabadde yakasindika vidiyo ng’ali ne bakaamabe mu mmotoka y’emu ssaako n’abantu abalala omuli n’abaana.

Omubaka Nantaba

Maama w’abaana alina abaana babiri (2) ate Nnamwandu nga bonna baali bageenda mu Saudia Arabia okunoonya eky’okulya kyokka Aliba yafudde nga wasigaddeyo omuwala omu yekka ategerekeseeko erya Jackie.

Nantaba era agamba nti Aliba yatwalibwa Kampuni ya Dream connect limited e Kibuli kyokka Kampuni yasabye famire okweyambisa muwala waabwe Jackie ali mu Saudi Arabia okufuna alipoota y’abasawo ne Poliisi ku nfa ya muganda we, okubyeyambisa okomyawo omulambo gwa Aliba.

Nantaba agamba nti Jackie naye mukozi mu maka mu Saudi Arabia nga kizibu okufuna alipoota y’abasawo ne Poliisi.

Mu Palamenti, Nantaba asabye abakulembeze omuli Ssaabaminisita Robinah Nabbanja okuyambako mu kuzza omulambo gwa Aliba, okunoonyereza okuzuula ekyamusse, nga waliwo ebigambibwa nti yagiddwamu ebitundu by’omunda omuli ensigo.

Nantaba ku mwana

Mungeri y’emu agamba nti wadde Aliba kati z’embuyaga ezikunta, waliwo bannayuganda abalala 4 nga bonna bawala abali mu Saudi Arabia nga bali mu mbeera mbi nga singa tebayambibwa, nabo boolekedde okufiirayo.

Nantaba abaana bakaaba

Mu Palamenti, Ssaabaminisita Nabbanja, asuubiza okulemberamu entekateeka zonna okukomyawo omulambo gwa Aliba.

Mungeri y’emu agamba nti alipoota za bannayuganda okuttibwa nga bali mu Saudi Arabia n’okubatulugunya zeyongedde obungi kati emyaka gisukka mu 10 kyokka waliwo ekituukiddwako wakati mu kuteeseganya mu ngeri y’okumalawo embeera eyo, nga batuuse mu Saudi Arabia.

PM Nabbanja
Sipiika Anita

Ate sipiika Anita Among, agamba nti balina okwongera amaanyi mu kwekeneenya Kampuni ezitwala, abantu ku byeyo mu Buwarabu, okuyambako okutangira ku ky’abaana okuttibwa.

Sipiika Among

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=H-0B6e86Fz4