Omuyimbi Eddy Kenzo ayongedde okulaga nti ddala alina talenti y’okuyimba.
Mu kivvulu kye ‘Eddy Kenzo Festival’ ekibadde mu kisaawe e Kololo, Kenzo awerekeddwako abayimbi bangi nnyo mu Uganda omuli Jose Chameleone, Bebe Cool, abalala bavudde mu nsi nga Tanzania, South Sudan, Zambia, Rwanda n’ensi endala.
Mu ngeri y’okulaga nti ddala okuwangula engule ya BET teyali nsobi, ekivvulu kisombodde abawanvu n’abampi, abakulu n’abaana ssaako n’abakungu mu gavumenti nga bakulembeddwamu Ssaabaminisita Robinah Nabbanja.

Ebifaananyi.