Okubba aba Mobile Money…..
Poliisi y’e Isingiro ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’obubbi.
Abakwate kuliko Joram Nkurunziza Kutesa, Bashir Bukenya ne Hassan Kakungulu Mulangira.
Kigambibwa benyigidde mu kubba obukadde bwa ssente 37 okuva ku bakozi ba Wave Money Transfer Uganda eza Mobile Money.

Samson Kasasira, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi agamba nti nga batambulira mu mmotoka ekika kya Mark-X namba UBK 535T, abakwate basudde emisanvu ku kyalo Nshungyezi mu kkubo lye Isingiro-Kikagate ne batwala ssente obukadde 37.
Aba Mobile Money kwe kuddukira ku Poliisi y’e Kikagate akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.
Wabula olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Poliisi yakutte abakwate basatu mu katawuni k’e Kabobo ku luguudo lwe Isingiro-Kitwe Ntungamo.

Kasasira agamba nti ku bukadde 37, Poliisi esobodde okuzuula obukadde 13,473,500 ate ku mmotoka kwasangiddwako enamba enjigirire UBJ 175C.
Abakwate 3 bali mu mikono gya Poliisi ate munaabwe Denis Twinamatsiko aliira ku nsiko.
Ate Francis Liiga, omuduumizi wa Poliisi mu disitulikiti y’e Isingiro, agamba nti abakwate bonna baavudde mu Kampala.
Ebyabadde mu kivvulu kya Kenzo – https://www.youtube.com/watch?v=qU5sA9oSAE4