Dr. Nafiu Lukman Abiodun, abadde akulira eby’okusomesa Economics and Statistics ku Yunivasite e Kabale agobeddwa ku misango gy’okukabasanya abayizi ku Yunivasite.
Abiodun nga munnansi w’e Nigeria era yabadde akulira okunoonyereza ku Yunivasite.
Ku ntandikwa y’omwaka guno ogwa 2022, Yunivasite yamuyimiriza okumunoonyerezaako ku bigambibwa nti abadde asukkiridde okusaba abayizi abawala akaboozi okusobola okubawa makisi ennungi, okuyita ebigezo.
Kigambibwa Abiodun abadde asuula abayizi abawala ebigezo, okusobola okubasaba akaboozi era bangi ku bawala nga balina okutya.
Mu kusaba abayizi omukwano, omu ku bayizi yali akooye ebikolwa bye, era yakwata amaloboozi ge ng’amusaba akaboozi ku ssimu.
Nga 11, November, 2022, Abiodun yafuna ebbaluwa okuva eri omuwandiisi wa Yunivasite Canon Johnson Munono Byaryantuma nti mu kunoonyereza kwabwe okuli ku nnamba Min.598160/AB/21122, kyazuuliddwa nti Abiodun alina emisango, ng’abadde akabasanya abayizi abawala, yalemwa okugoberera amateeka g’ebigezo, ekintu ekimenya amateeka.
Yunivasite yagaanye okuzza obuggya endagaano ya Abiodun ng’omusomesa ku Yunivasite e Kabale era yasabiddwa okuwaayo ebintu bya Yunivasite byonna era omukulu akulira eby’okusomesa Economics and Management Science.
Wabula Chansala wa Yunivasite e Kabale Joy Constance Kwesiga agaanye okwogera ku nsonga ezo era agamba nti afunye amawulire nti Abiodun ayinza okuddukira mu kkooti, okwekubira enduulu.
Mu Uganda, emisango gy’abasomesa okukabasanya abayizi gyeyongedde n’okusingira ddala ku matendekero aga waggulu.