Omuvubuka myaka 22, asingiziddwa emisango gy’okusinda omukwano n’embuzzi mu kkooti y’e Mombasa mu ggwanga erya Kenya.

Omuvubuka Shadrack Musyoka Mulwa, asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Martha Mutuku owa kkooti esookerwako.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, sabiiti eno nga 14, omwezi guno ogwa November, 2022 Mulwa nga mutuuze ku kyalo Likoni, e Mombasa mu ggwanga erya Kenya, bamusaanga lubona, ng’ali ku mbuzzi, basinda mukwano.

Mulwa mu kkooti

Yali apangisiddwa okulunda embuzzi wabula nga batuuse ku ttale, embuzzi yamusikiriza ne badda mu kwesa empiki, nannyini zo, yageenda okutuuka okutaasa ng’embuzzi eri mu kaaba, olw’amaanyi g’omulenzi.

Mu kkooti, yegaanye emisango gyonna, era omulamuzi amuyimbudde ku ssente ze Kenya emitwalo 100,000 nga mu za Uganda shs 3,600,000

Nanyini mbuzi, asabye omulenzi okuwasa embuzzi ye, kuba ye mukyala gwe yasiimye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=x8SyBaDrX6k