Omukozi ku TV aswadde..

Mu nsi y’omukwano, abantu bakola ebintu eby’enjawulo, okulaga nti ddala ali mu laavu.

Ekyembi, ate waliwo abali mu laavu kyokka nga batya, okuvaayo mu lwatu okulaga ensi oba okutwala baganzi baabwe mu bantu.

Woosomera bino nga waliwo omukozi ku TV mu masekati ga Uganda (Central Uganda) ali mu laavu n’omukozi w’awaka kyokka abadde abikola mu nkukutu.

Omusajja ono ali mu laavu n’omukozi, mufumbo era kigambibwa abadde addayo awaka emisana, okudda mu kaboozi n’omukozi mu kiseera ng’omukyala ali ku mulimu.

Kigambibwa, omusajja yeekyangidde ku mukozi, era ng’omukyala omulala yenna, kyavuddeko omukozi okutabuka.

Mbu, omukyala yatabukidde omukozi okwenyigira mu kubba ssente ze, ekyavuddeko omukyala okutegeeza bba nti omukozi w’awaka agobeddwa.

Omukozi yabadde alowooza nti omusajja ayinza okumuwolereza kyokka omusajja teyafuddeyo.

Omukozi w’awaka atabudde amaka!

Omukozi ategerekeeseko erya Annet olw’agobeddwa, olw’obusuungu kwe kusalawo okutabula amaka.

Asobodde okusindikira omukyala vidiyo ng’ali ne bba mu ngeri y’omukwano ssaako ne mesegi za WhatsApp ng’abba asaba akaboozi n’okuwaana omukozi nti kafulu nnyo mu nsonga z’omu kisenge.

Omukozi era agamba nti wadde agobeddwa, omusajja akyamwagala.

Omusajja asobeddwa!

Wadde omusajja mukozi ku TV, (erinnya lisirikiddwa), amanyikiddwa abantu ab’enjawulo, asobeddwa kuba kati omukyala yafunye dda amawulire ne bwiino nti abadde amwendako.

Mu kiseera kino omusajja asobeddwa eky’okuzaako kuba kati omukyala ayinza okunoba ssaako n’ensonga zaabwe, okweyongera okugenda mu mawulire.

Okuva ku Lwomukaaga akawungeezi, omukyala akyagaanye okuddamu okunyega omusajja ekigambo kyonna.

Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=ac_siacQedE&t=10s