Poliisi evuddeyo ku Yunivasite…

Ekitongole ekya Poliisi kivuddeyo ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’abayizi mu matendekero agawagulu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku misango mu ggwanga ekya CID e Kibuli, kivuddeyo okunoonyereza ku nsonga ezo.

Enanga agamba nti Poliisi efunye alipoota ez’enjawulo nga waliwo abasomesa abegumbulidde okutyoboola eddembe ly’abayizi.

Ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Enanga agamba nti balina ensonga ez’enjawulo zebagenda okunoonyerezaako.

Ensonga mwe muli abasomesa okukabasanya abayizi (abalenzi n’abawala), okukuba abayizi, abasomesa okusuula abayizi ebigezo n’ensonga endala.

Enanga era agamba nti CID eyingidde mu nsonga z’omuyizi ku ttendekero e Makerere eyakubiddwa omusomesa Bernard Wandera.

Mu katambi akali mu kutambula ku mikutu migatta abantu, omusomesa Wandera okuva mu College of Humanities and Social Sciences yakubye omuyizi omuwala embi.

Wadde Wandera yayimiriziddwa ku Yunivasite e Makerere, Enanga agamba nti balina okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekyavuddeko omusomesa okukuba omuyizi.

Mungeri y’emu waliwo n’ensonga y’omusomesa ku Yunivasite y’e Kabale, eyagobeddwa ku Yunivasite ku misango gy’okukabasanya abayizi.

Fred Enanga

Dr. Nafiu Lukman Abiodun, abadde akulira eby’okusomesa Economics and Statistics, yagobeddwa.

Abiodun nga munnansi w’e Nigeria era yabadde akulira okunoonyereza ku ttendekero.

Ku ntandikwa y’omwaka guno ogwa 2022, Yunivasite yamuyimiriza okumunoonyerezaako ku bigambibwa nti abadde asukkiridde okusaba abayizi abawala akaboozi okusobola okubawa makisi ennungi, okuyita ebigezo.

Kigambibwa Abiodun abadde asuula abayizi abawala ebigezo, okusobola okubasaba akaboozi era bangi ku bawala nga balina okutya.

Mu kusaba abayizi omukwano, omu ku bayizi yali akooye ebikolwa bye, era yakwata amaloboozi ge ng’amusaba akaboozi ku ssimu.

Nga 11, November, 2022, Abiodun yafuna ebbaluwa okuva eri omuwandiisi wa Yunivasite Canon Johnson Munono Byaryantuma nti mu kunoonyereza kwabwe okuli ku nnamba Min.598160/AB/21122, kyazuuliddwa nti Abiodun alina emisango, ng’abadde akabasanya abayizi abawala, yalemwa okugoberera amateeka g’ebigezo, ekintu ekimenya amateeka.

Yunivasite yagaanye okuzza obuggya endagaano ya Abiodun ng’omusomesa ku Yunivasite e Kabale era yasabiddwa okuwaayo ebintu bya Yunivasite byonna ng’akabonero akalaga nti agobeddwa.

Mu Uganda, emisango gy’abasomesa okukabasanya abayizi gyeyongedde n’okusingira ddala ku matendekero aga waggulu.

Eddoboozi lya Enanga

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=b3za5si2u9w