Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Sembabule asindise mu kkomera Ddereeva okumala emyaka 4 ku misango gy’okutomera abaana 5 nga kati z’embuyaga ezikunta.
Musa Amiisi nga mutuuze ku kyalo Bweera mu disitulikiti y’e Kasese, akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, yasibiddwa lwa kuvugisa kimama n’okutta abaana 5 mu kabenje.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jacqueline Bbako, lugamba nti nga 16, Ogwomusanvu, 2022, Amiisi bwe yali avuga Toyota Wish namba UBG 517L ku luguudo lwe Sembabule-Gomba, yatomera abaana munaana (8) wakati w’emyaka 8 – 11, nga baali bava okusoma omugigi ku kkanisa ya St Gongaza Catholic mu Tawuni Kanso y’e Sembabule.
Bbako agamba nti abaana 5 bafiirawo ate 3 baafuna ebisago ebyamaanyi.
Mu kkooti, Bbako ne banne baleese obujjulizi obulaga nti Amiisi yali adduka nnyo, nga tafaayo ku bulamu bw’abantu balala.
Omulamuzi Maurice Oburu mu kuwa ensala ye, yeesigamye nnyo ku lipoota eyakolebwa akulira Poliisi y’oku nguudo mu disitulikiti y’e Sembabule era eyakwata Amiisi.
Okusinzira ku Poliisi, Amiisi okudduka ennyo, y’emu ku nsonga lwaki yatta abantu.
Amiisi yakkiriza emisango, kwe kusaba omulamuzi ekibonerezo ekisamusaamu.
Damiano Kateregga, omu ku bazadde agamba nti Amiisi okutta abaana 5 kyokka omulamuzi naamusiba emyaka 4, tebamatidde nakibonerezo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8Dxuf7L4ktM