Omuwala ali mu maziga…
Poliisi mu bitundu bye Kira eri mu kunoonya abasajja basatu (3) ku misango gy’okusobya ku muwala kirindi bwe yabadde akedde okukola dduyiro.

Okunoonyereza kulaga nti omuwala myaka 22 yavudde awaka ku ssaawa 10:30 ez’ekiro (4:30AM) ku kyalo Buloli e Namugongo mu disitulikiti y’e Wakiso, okugenda okukola dduyiro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omuwala bwe yatuuse mu maaso ga Viena-College, kwe kusaanga abasajja basatu (3) nga bakutte ejjambiya.

Fred Enanga

Enanga agamba nti, “omuwala yakwatiddwa ne bamutwala mu kasiko akali okumpi ne bamusobyako kirindi, oluvanyuma ne batwala essimu ye eya smart phone‘.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti omuwala yawonye okuttibwa kuba yavuddeyo mu nsiko ng’ali mu maziga nga n’ebitundu by’ekyama bikoowu nnyo.

Ate omudduumizi wa Poliisi mu bitundu bye Kira, Abas Ssenyonjo, agamba nti okunoonya abasajja kuli mu ggiya nnene.

Ssenyonjo agamba nti bagenda kweyambisa obukodyo obw’enjawulo, okutuusa ng’omuwala afunye obwenkanya.

Wabula Enanga alabudde abantu okukomya okukola dduyiro obudde bw’ekiro kuba kiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga.

Mu kiseera kino abatuuze mu bitundu bye Namugongo bali mu kutya olw’abantu abakyamu abeyongedde mu kitundu kyabwe. Omwezi oguwedde ogwa October, 2022, omukyala munnamateeka Suzan Alweny okuva mu kitongole ki Liberty General Insurance yattibwa abantu abatamanyiddwa bwe yali avudde mu mmotoka okugula ennyama ku luguudo lwe Kiwatule-Naalya.

Wadde abatuuze bali mu kutya, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byongedde amaanyi ku nsonga y’ebyokwerinda.

Eddoboozi lya Enanga

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=i1Py7h_O5_o