Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku misango egyakwasiza, eyali yeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okuwedde ogwa 2021, Joseph Kabuleta, eyakwatiddwa olunnaku olw’eggulo.

Joseph Kabuleta yagiddwa ku kitebe ky’ekibiina kye, ekya National Economic Empowerment Dialogue e Bugolobi, ku ssaawa nga 7 ez’emisana, abasajja 6 nga bali mu ngoye ez’abuligyo.

Okusinzira ku vidiyo, eyatambudde ku mikutu migatta abantu, Kabuleta yateekeddwa mu mmotoka ekika kya ‘Drone’ era atwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa.

Kabuleta yakwatiddwa eggulo

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Nabakka Chaire, agamba nti Kabuleta yakwatiddwa ku misango gy’okutumbula obusosoze, ekintu ekiyinza okutabangula eggwanga.

Poliisi egamba nti nga 20, Ogwokutaano, guno omwaka 2022, Kabuleta ne banne abakyaliira ku nsiko, nga basinzira ku kitebe kyabwe Bugolobi, benyigira mu kutumbula obusosoze.

Nabakka agamba nti Kabuleta ne banne, bategeeza nti obuwereza mu bitundu bye Mbarara, basinzira ku ggwanga okuli Abatuusi, Abahima, Abakiga ssaako n’Abanyankole, ekintu ekitumbula obusosoze.

Nabakka era agamba nti Kabuleta yakwatiddwa, oluvanyuma lw’okuyitibwa okweyanjula eri Poliisi, kyokka ne yeelema.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=i1Py7h_O5_o