Geosteady kati ali mu laavu..

Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza lwaki ddala Mr Henry, yadduka eyali muganzi we, Prima Kadarshi, Ssenga Kawomera akubye ttooci mu nsonga ezo.

Ku ntandikwa y’omwaka 2022, Henry yali mu laavu ne Prima ng’omukwano guli mu ggiya nnene wabula werutuukidde olwaleero nga buli omu akola bibye.

Kati bali mu laavu

Mu kiseera kino Prima yakooye okunoonya omukwano era kati ali mu laavu ne taata w’abaana era omuyimbi Kigozi George Wiliam amanyikiddwa nga Geosteady.

Geo agamba nti Prima mukyala we, balina abaana nga kati ye ssaawa, okuddamu okunoonya ssente, okwekulakulanya nga famire n’okuteekerateekera abaana baabwe.

Ku nsonga ya Prima okuddayo eri bba Geosteady, Ssenga Kawomera agamba nti omukyala yenna ng’alina abaana b’omusajja, kiba kizibu nnyo omukyala okwawukanira ddala n’omusajja.

Ssenga Kawomera agamba nti Prima yali azzeeyo ku ssomero mu kiseera ng’ali ne Mr Henry, okufuna obukodyo ku ngeri y’okusinda omukwano oguliko.

Henry ne Prima

Agamba nti Henry yali mulenzi muto, ng’asobola okuyamba Prima okufuna akaboozi ate mu budde, nga bw’alinda okuddayo eri bba Geosteady.

Ssenga Kawomera era agamba Mr Henry abadde ng’omusomesa ali mu kubangula omuyizi Prima, okufuna obukodyo bw’okusinda omukwano, era kati yazzeeyo eri bba Geosteady oluvanyuma lw’okufundikira emisomo gy’omukwano.

Geosteady okulaga nti ddala Prima mukugu mu nsonga z’omu kisenge, yamuyimbidde oluyimba lw’omukwano ‘Sembera’, okulaga nti ddala Mr Henry yakoze omulimu omulungi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=i1Py7h_O5_o