Omuyizi ku Yunivasite e Kyambogo asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kauga ku misango gy’okusobya omwana myaka 13, omuyizi ku Ssekiboobo Primary School.

Aaron Wasswa myaka 21, ng’asoma bya kulakulanya bitundu asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Mukono Racheal Nakyazze.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, omwezi oguwedde, Wasswa yasobodde okusendasenda omwana, namuyingiza mu nju ya bazadde be, ku kyalo Kimwanyi Cell e Mukono era yamusobezaako okumala ennaku 2.

Aaron Wasswa

Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Josephine Nanyonjo, lusabye omulamuzi okwongezaayo omusango, okutereeza ebiwandiiko ebikwata ku myaka gy’omwana, eyasobezeddwako.

Nanyonjo agamba nti baafunye okwemulugunya ng’abazadde, balumiriza omusirikale Deborah Namudaka, omunoonyereza, okukyusa emyaka gy’omwana okuva ku 13 okudda ku 14.

Wadde munnamateeka w’omusibe, omuyizi we Kyambogo, Hussein Kato asabye omulamuzi okuyimbula omuntu we, omulamuzi azzeemu okumusindika ku limanda okutuusa nga 7, omwezi ogujja ogwa Desemba, okuwa akadde oludda oluwaabi, okutereeza ebiwandiiko ku nsonga y’emyaka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=i1Py7h_O5_o