Obubenje mu Desemba…
Poliisi y’ebidduka erabudde bannayuganda okweddako nga bali ku nguudo, okusobola okukendeza omuwendo gw’abantu abafa n’okufuna ebisago.
Nga tuyingira ennaku enkulu omuli Ssekukkulu n’okwaniriza omwaka 2023, Poliisi egamba nti obubenje bweyongedde ku nguudo nga n’omuwendo gw’abantu abafa gweyongedde.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga Assistant Superintendent of Police –ASP Faridah Nampiima, mu Desemba yekka, abantu 163 bebakafa nga kivudde ku bubenje ate 573 bali ku bisago mu malwaliro ag’enjawulo.

Obubenje buvudde ku bodaboda n’emmotoka omuli abantu okuvuga ebidduka nga biri mu mbeera mbi, abamu nga bakoowu, batamidde, okuvugisa ekimama n’abamu okulemwa okuwa banaabwe ekitiibwa nga bali ku nguudo.
Nampiima agamba nti abantu 81 bafudde mu nnaku 6 zokka okuva 4 Desemba okutuusa 10, Desemba, 2022. Abantu 83 baafudde okuva ku Mmande okutuusa ku Lwomukaaga sabiiti ewedde, kwe kuweza omuwendo gw’abantu 163.
Abamu ku baafudde wiiki ewedde kuliko abasirikale ba tulafiki 4 okuli Pius Epodoi, Marvin Odong, Sulah Kadede ne Micah Muhindo.
Waliwo abasirikale abali malwaliro nga banyiga biwundu oluvanyuma lw’obubenje okuli Corporal Odong Jacob, PC Opio Junior Peter, PC Omara Keneth, PC Okello Daniel, PC Candia James, PC Okura George, PC Ochora Simon, PC Ekoju Vicent, PC Awuzu Vicent, PC Okwera John, PC Okure Abraham ne PC Torach Calvin.
Abalala kuliko omubaka we Serere Patrick Okabe. Omubaka Okabe yafudde olunnaku olw’eggulo ku Mmande ne mukyala we Christine Okabe mu kabenje ku luguudo lwe Mbale Tirinyi.
Nampiima era agamba nti aba bodaboda n’abasabaze bebakyasiinze okufa mu ggwanga lino Uganda.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=cxwHxsP5qss