Omusiguze attiddwa…

Poliisi y’e Busoga East eri mu kunoonya ssemaka Muzafalu Nabeta ne mukyala we Mirabu Mutesi nga batuuze ku kyalo Buwongo mu ggoombolola y’e Makutu mu disitulikiti y’e Bugweri ku misango gy’okutta  Charles Balidawa.

Kigambibwa Nabeta yasse Balidawa oluvanyuma lw’okumusanga ng’ali ne mukyala we Mutesi mu kisenge kye.

Okunoonyereza kulaga nti Nabeta nga musajja musuubuzi, yasuubiza mukyala we Mutesi okudda ku ‘Kulisimansi’ nga yabadde mu disitulikiti y’e Bugiri.

Wabula yakomyewo olunnaku olw’eggulo ‘Boxing day’ ku makya, okutuuka mu kisenge nga Balidawa yeebase ku kitanda, alaga nti mukoowu, omukyala yamugabidde ebyalo, kiro kiramba.

Nabeta yakutte enkumbi era yakubye Balidawa ku mutwe, olw’okuzuula nti enva baazikuttemu.

Ate omukyala Mutesi yakubye enduulu eyasombodde abatuuze, okutuuka mu kisenge ng’omusajja omusiguze Balidawa ali mu mbeera mbi ate Nabeta, yasobodde okudduka olw’okutya abatuuze okumutusaako obulabe.

Omusiguze, yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Iganga nga mu kiseera kino, ssemaka Nabeta n’omukyala Mutesi, baliira ku nsiko.

Wabula akulira ebyokwerinda ku kyalo Zubair Wandera, agamba nti Mutesi ne bba, baludde nga bali mu mbeera nnungi, nga famire temuli nsonga ya bwenzi nga yewuunyiza nnyo ate omukyala okuleeta omusajja mu nju ya bba ate mu kisenge kyabwe.

Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, Diana Nandawula agamba nti okunoonya ssemaka Nabeta n’omukyala Mutesi kuli mu ggiya nnene mu kiseera kino nga bali ku misango gya kutta muntu.

Nandawula, awanjagidde abafumbo, okweyambisa Poliisi mu kitundu kyabwe, okugonjola ensonga okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=cGAa9i6rt30