Poliisi ekutte abantu 4 ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 13 mu disitulikiti y’e Kabale.
Omwana Glorious Akampurira Owembabazi ng’abadde mutuuze ku kyalo Kyarugondo mu muluka gwe Kasyeregyenyi mu ggoombolola y’e Kamuganguzi mu disitulikiti y’e Kabale yasobezeddwako akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku Kulisimansi ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, mu Katawuni k’e Nyakasharara ku kyalo Kyarugondo mu ggoombolola y’e Kamuganguzi.
Omwana Owembabazi, yakoseddwa nnyo era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale.
Mu kunoonyereza, Poliisi ekutte 4 okuli Davis Akankwasa, Allan Akanyijuka, Moses Sendarera, ne Norman Ahumuza nga bonna bali ku kitebe kya Poliisi e Kabale.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, avumiridde ekikolwa ekyo era agamba nti abakwate essaawa yonna, babatwala mu kkooti.
Ate Poliisi y’e Kisoro ekutte Pafura Munezero, omutuuze ku kyalo Gafurizo mu ggoombolola y’e Nyarubuye mu disitulikiti y’e Kisoro ku misango gy’okutta kitaawe Yonesani Bwemera.
Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Habumuremyi Maxim myaka 50, Munezero yakubye kitaawe Bwemera enkumbi ku mutwe kyokka ensonga lwaki yasse kitaawe temanyikiddwa.
Bwemera yafiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mbarara gye yabadde atwaliddwa nga balowooza basobola okutaasa obulamu.
Omutabani Munezero yatwaliddwa ku Poliisi y’e Kisoro ku misango gy’okutta omuntu.
Elly Maate, alabudde abatuuze okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.
Ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=cGAa9i6rt30