Kyaddaki omuwala Kafta Queen eyakwatibwa ku misango gy’okuba omuwala Pretty Nicole, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kira era asindikiddwa mu kkomera

Sabiiti ewedde, obutambi bwatambula nnyo ku mikutu migatta bantu omuli WhatsApp, Face Book n’emikutu emirala, nga waliwo akabinja k’abawala akali mu kutimpula Nicole emiggo.

Mu katambi, Nicole yakubwa emiggo, okumuyiira amazzi wabula yasobola okudduka mu ngeri y’okutaasa obulamu.

Okunoonyereza kulaga nti Kafta Queen, yakubira Nicole essimu okuggya ku Patte y’amazaalibwa ge wabula bwe yatuuka nga yesuunga kulya mmere, kusala cceeki na byakunywa ate ne bamutimpula emiggo.

Enkya ya leero nga yeetekateeka okumusiimba mu maaso g’omulamuzi Nyadoi Esther, Kafta Queen ayongedde okusaba Nicole ekisonyiwo.

Mu kkooti, Kafta Queen aguddwako emisango gy’okutulugunya omuntu ekisukkiridde era agaaniddwa okuvaamu ekigambo kyonna.

Kafta Queen wakati mu kanula amaaso ng’asobeddwa, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 31, Janwali, 2023.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka wa Nicole, Nahabwe Precious avumiridde ekya Kafta Queen okutwalira amateeka mu ngalo ne banne.

Nahabwe agamba nti wadde Kafta Queen asabye okusonyiyibwa, balina okuwa omwagaanya amateeka okuteekebwa mu nkola.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=B7GbZEqttBE