Omuwala wa Yunivasite aswadde mu maaso ga kitaawe, oluvanyuma lw’obutambi okutambula ng’ali mu loogi mu nsonga z’omukwano.

Omuwala ategerekeseeko erya Anita ng’ali mu myaka 22, asoma bya busomesa kw’emu ku Yunivasite mu Kampala era ali mu mwaka gwakubiri.

Anita wadde muwala mukulu ng’okuba mu laavu si musango, okuswala kyavudde ku vidiyo ng’ali mukwano, okutuuka mu bazadde.

Kigambibwa, yafunye obutakaanya n’omulenzi ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2022 era Janwali yenna, omuvubuka abadde asaba Anita okudingana.

Anita yagaanye okuddiramu omuvubuka era kigambibwa, yafunye amawulire nti kati Anita ali mu laavu n’omusajja omulala.

Mu nsi yonna, mulimu abantu nga bakola ebintu ebiswaza n’okuwebuula ekitiibwa kyabwe.

Kale n’omusajja yakutte vidiyo 2 ng’ali mu kaboozi ne Anita, kwe kusindika ku ssimu ya Anita.

Oluvanyuma yakutte vidiyo, nasindikira taata wa Anita.

Wadde Anita alina omulenzi omulala, olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, yafunye essimu okuva eri kitaawe era yasabiddwa, okutegeeza omuvubuka okukomya okusindika vidiyo.

Anita agamba nti wadde omuvubuka yali amwagala nnyo, yali asukkiridde obwenzi era kati alowooza kugenda ku Poliisi okuloopa omusango kuba akooye okuswazibwa.

Mu ggwanga Uganda, kati musango okutambuza vidiyo z’obuseegu ku mikutu migatta bantu.

Wadde Anita agaanye okwatuukiriza amannya g’omuvubuka, essaawa yonna asuubiza okumutwala mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nBdu4eVGX1k