Abadde asobya ku baana n’abakadde..

Poliisi y’e Nkoni mu disitulikiti ye Lwengo ekutte omuvubuka  Kato Kajubi ku misango gy’okusobya ku bawala abato n’abazadde.

Abatuuze baludde nga beemulugunya ku muvubuka Kajubi ku misango gy’okudda ku baana abato okubakozesa mu by’omukwano.

Kigambibwa nga 29, October, 2022 Kajubi yateega omuyizi eyali ava ku ssomero akawungeezi namusobyako kyokka olwategeera nti bayinza okumutwala mu kkomera yadduka mu kyalo era mbu okuva mu October, abadde abeera mu Kampala.

Omwana gwe yasobyako yali muyizi ku Misanvu S.S e Bukomansimbi ssaako n’abakadde ku kyalo abadde aliira ku nsiko.

Kajubi yabadde akomyewo ku kyalo era amangu ddala abatuuze baatemeza ku Poliisi era amangu ddala abasirikale nga bakulembeddwamu omubaka wa Pulezidenti (RDC) w’e Bukomansimbi Fred Kalema n’amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Lwengo Vicent Birimuye era Kajubi yakwatiddwa bwe yabadde agezaako okuddamu okudduka.

Kajubi yasangiddwa mu maka g’abazadde be  omwami Lawrence Kalibala n’omukyala Nanziri  ku kyalo Nakatooke e Lwengo nga yabadde yekwese wansi w’ekitanda.
Oluvanyuma lw’okukwatibwa, yatwaliddwa ku Poliisi y’e Nkoni, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza naye ali ku misango gy’okusobya ku baana n’abakyala ku kyalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FeEy1xhXXxA&t=603s

Bya Nakimuli Milly