Poliisi y’e Amuru ekutte maama ne muwala we ku misango gy’okutta bba nga 24, Febwali, 2023 ku ssaawa 2 ez’ekiro ku kyalo Labongo mu ggoombolola y’e Pagak mu disitulikiti y’e Amuru.

Omuwala yali yanoba mu bufumbo kyokka kigambibwa abadde azzeemu okuzunga n’abasajja ku kyalo.

Okunoonyereza kulaga nti taata yalagidde muwala we, okwesonyiwa obwenzi kuba ayinza okuddayo mu bufumbo bwe obwasooka.

Omuwala yavudde mu mbeera, kwe kulumba kitaawe okumukuba era omwana yeegatiddwaako nnyina okutta kitaawe.

Wakati mu kulwana, omusajja yakubye omutwe ku ttaka era yafiiriddewo.

Oluvanyuma lw’okutta omusajja Nyeko Augustine myaka 66, omukyala Laduu Santa myaka 50 bakaanyiza ne muwala we Amony Concy myaka 28 okudduka ku kyalo.

Oluvanyuma lw’okutta omusajja, maama Santa ne Concy, bakaanyiza okusibira omulambo mu nnyumba, okudduka okuliira ku nsiko.

Omulambo gwazuuliddwa Wokolanya Patrick  omu ku batuuze enkeera nga 25, Febwali, 2023 era amangu ddala yaddukidde ku Poliisi.

Poliisi yasobodde okunoonyereza era Amony Concy ne Laduu Santa bali mu mikono gya Poliisi ku misango gy’okutta omuntu.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti essaawa yonna maama n’omwana bamutwala mu kkooti.
Enanga awanjagidde abatuuze okweyambisa abakulembeze mu byalo omuli bassentebe ku byalo, okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8SSPr2l4N6k