Kyaddaki Poliisi y’e Kiira ekutte omusajja agambibwa okwenyigira mu kutta omusuubuzi Shaban Malore.

Malore yattibwa nga 14, May, 2022, abasajja abaali batambulira ku Pikipiki bwe yali adda awaka ku kyalo Buweera mu ggoombolola y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja.

Issa Malore, muganda w’omugenzi azuuliddwa nga yekwese ku kyalo Naluwerere cell mu Monicipaali y’e Bugiri.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira James Mubi, agamba nti Malore abadde yakyusa amannya emannya nga yeeyita Morgan Manihogane mu bitundu bye Bugiri eby’enjawulo.

Issa Malore ku Poliisi

Mubi agamba nti Malore yaliko mu ssabo mu disitulikiti y’e Luuka mu September, 2022 kyokka oluvanyuma yakyusa ekitundu okudda mu disitulikiti y’e Kamuli.

Mubi era agamba nti MaLore abadde akyusa amassimu kumpi buli wiiki nga kibadde kizibu okumulondoola.

Okunoonyereza kulaga nti Shaban Malore yattibwa nga Issa Malore yakava mu kkomera ku misango gy’okwonoona ebintu, okubba n’okutisatiisa abantu.

Ate Poliisi y’e Busoga North ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutta omusuubuzi w’e Kamuli John Kiirya.

Abakwate kuliko Bosco Kifuko, Messach Bajinga ne Lazarus Tenywa.

Kiirya abadde mutuuze ku kyalo Kisaikya zone B mu ggoombolola y’e Namasaagali mu disitulikiti y’e Kamuli yafumitiddwa abantu abatamanyiddwa bwe yabadde addayo awaka nga 7, February, 2023.

Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North agamba nti Poliisi esobodde okweyambisa embwa ezikonga olussu okuzuula abagambibwa okuba abatemu.

Kasadha agamba nti Poliisi eriko byezudde ebigenda okubayambako mu kunoonyereza era abakwate essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Nw5EjPl5zcY