Omuwala myaka 20 asindikiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala ku misango gy’okutta bba eyali yakava mu kkomera.

Omulamuzi Stella Amabillis yasindise omuwala Neymar Fidali, omutuuze ku kyalo Kakindu e Katabi, Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Fadali yali mukyala wa Tony Mbaziiira eyali yakwatibwa mu 2019 ku misango egy’enjawulo.

Mu kiseera ng’omusajja ali mu kkomera, omukyala Fidali yafuna omusajja omulala Rider Jonah.

Amangu ddala nga Jonah ayimbuddwa mu kkomera, yakitegeera nti mukyala we yali yafuna omusajja omulala era abadde akola obwenzi.

Nga 26, Ogwomunaana, 2022, Mbaziira yakubira mukyala we essimu, era yamutegeeza nti yali mu bbaala e Kawempe ne Jonah era yamusaba okuyamba okuggya okumukima.

Mbaziira wadde yakima omukyala ne balinya takisi okudda awaka, ate enkeera nga 27, Ogwomunaana, 2022, omukyala yakuba omulanga okuyita abatuuze okuyamba nga bba yali mu mbeera mbi.

Abatuuze okuggya okutuuka mu nnyumba, nga Mbaziira, agudde wansi ku ttaka mu kitaba ky’omusaayi ng’amaze okufa, kwe kuyita Poliisi y’e Kisubi.

Wadde omukyala yakwatibwa ku misango gy’okutta bba, muganzi we Jonah akyaliira ku nsiko.

Okunoonyereza kulaga nti omulambo, gwali gujjudde ebiwundu ku kifuba, omugongo era Poliisi yazuula amassimu 2, akawale k’omukyala akaali aka bulaaka nga n’alipoota y’abasawo eraga nti Mbaziira yafa nga kivudde ku biwundu ebyamutusibwako.

Omukyala ali lubuto era tekimanyiddwa ani nannyini lubuto, abamu bagamba nti lwa mugenzi Mbaziira ate abamu bagamba nti lwa Jonah wadde aliira ku nsiko.

Omukyala kati alinze kkooti enkulu kwewozaako

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=T17xPvv4l_I