Gavumenti ya Uganda ne Saudi Arabia, bakaanyiza ku bintu eby’enjawulo, mu ndagaano empya, eyatekeddwako omukono.

Mu Uganda, bangi ku bavubuka omuli n’abo, abafundikidde emisono gyabwe, begumbulidde okuddukira mu nsi z’ebweru okunoonya emirimu n’okusingira ddala mu nsi za buwalabu.

Wabula  nga 23, Febwali, 2023, endagano ekkiriza abakozi b’awaka okuva mu Uganda mu ggwanga lya Saudi Arabia, yagwako okutuusa olunnaku olw’eggulo nga 29, March, 2023, ensi zombi, webakaanyiza ku nsonga ez’enjawulo, ne baddamu okuteeka omukono ku ndagaano.

Mu ndagano empya, Uganda yakkiriziddwa okutwala abakozi abakola emirimu egy’enjawulo nga mu kiseera kino bannayuganda abali mu mitwalo 15, bebali mu Saudi Arabia.

Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bafiiridde mu ggwanga, mu ndagaano empya, bakaanyiza okulongoosa embeera z’abakozi.

Mu byakanyiziddwako mwe muli

– Ensi zombi okutuula singa wagwo obuzibu ku nsonga z’abakozi.

– Abakozi bonna abakola emirimu gy’awaka, balina kugendera bwerrere, emisoso gyonna girina kusasulirwa omuntu eyetaaga omukozi mu Saudi Arabia.

– Kampuni zonna ezitwala abakozi b’awaka, balina kubatwalira bwereere.

– Omukozesa yenna okukyusa omukozi, alina kwebuuza ku Gavumenti zombi ate omukozi alina okukiriza.

– Bakaanyiza okweyambisa emitimbagano, okulondoola abakozi mu Uganda ne Saudia Arabia.

Minisita w’ekikula ky’abantu Betty Amongi ng’asinzira wali ku Media Centre mu Kampala, awanjagidde bannayuganda bonna, abali mu ntekateeka okugenda mu Saudi Arabia, okweyambisa kkampuni eziwandikiddwa mu mateeka.

Ku lwa Minisita, Martin Wandera – akulira ensonga z’abakozi mu Minisitule y’abakozi, agamba nti byonna bigendereddwamu okutereeza eby’emirimu wakati w’ensi zombi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d_YHpnqSRUU