Taata eyakwatiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana we, bamutwala mu ddwaaliro okwekebejja omutwe.

Sam Batuwa myaka 30, yakwatiddwa Poliisi y’e Iganga ku misango gy’okusobya ku mwana we, myezi 12.

Taata ono Batuwa, yabadde akyalidde nnyina ku kyalo Kiwani mu ggoombolola y’e Nawandala mu disitulikiti y’e Iganga, kwe kulabiriza nnyina ng’ atambuddemu era bwatyo yakutte omwana namutwala mu nnyumba namusobyako.

Taata Batuwa yasangiddwa lubona ng’omwana yenna atonnya musaayi wakati mu kulukusa amaziga, kwe kumuddusa mu ddwaaliro e Iganga okufuna obujanjabi.

Omwana asobezeddwako

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Diana Nandawula, agamba nti taata Batuwa bamutwala mu ddwaliro okumwekebejja obwongo era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana we.

Ate Poliisi e Rukungiri eri mu kunoonya abatemu abenyigidde mu kutta omutuuze myaka 60.

Joseph Bashobeirwe abadde mutuuze ku kyalo Kakatenga cell mu ggoombolola y’e Buhunga mu disitulikiti y’e Rukungiri.

Kigambibwa olunnaku olw’eggulo ku Ssande ku ssaawa 4 ez’okumakya, Bashobeirwe yavudde awaka okugenda mu nimiro ku lusozi ku kyalo Kakatenga.

Ku ssaawa 9 ez’akawungeezi, omutuuze Maurice Kyomugisha yabadde waka kwe kuwulira omuntu akuba enduulu waggulu ku lusozi ng’asaba buyambi nga yabadde alumbiddwa abatemu.

Kyomugisha okutuuka ku lusozi nga Bashobeirwe ali mu kitaba kya musaayi, attiddwa.

Amangu ddala yasobodde okuyita abatuuze ne Poliisi y’e Buhunga okuyambako mu kunoonya abatemu.

Elly Maate

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agamba nti omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e  Rwakabengo okwekebejjebwa.

Maate agamba nti abatemu bonna baliira ku nsiko mu kiseera kino era awanjagidde abatuuze okuyambagana okunoonya abatemu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=KR7ImCwBk3I