Essanyu libugaanye abamu ku batuuze b’e Kayunga nga bakulembeddwamu omubaka omukyala ow’e Kayunga Idah Nantaba olwa kkooti erwanyisa obulyake mu Kampala, okuyimbula omubaka w’e Ntenjeru North era Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga lino Amos Lugoloobi.

Ku Mmande, mu maaso g’omulamuzi Albert Asiimwe, Minisita Lugoloobi yaggulwako emisango 2 omuli okusangibwa n’amabaati amabbe 400 ng’emisango yagiza wakati wa 14 – 28, Febwali, 2023 wabula emisango gyonna yagyegaanye.

Mu kkooti, atuusiddwa wakati mu byokwerinda era omulamuzi akkiriza okusaba kwe okweyimirirwa ku ssente obukadde 10 ez’obuliwo.

Minisita Lugoloobi, yawa ensonga ez’enjawulo okuba nti mulwadde wa mutima era yalongosebwako.

Endwadde endala eza Minisita kuliko Asima, omugejjo nga baleeta ebbaluwa okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ne Aghakan mu ggwanga erya Kenya, eziraga nti yetaaga obujanjabi ate asobodde okuwaayo ebyapa by’ettaka omuli okuli n’amakaage ku kyalo Lukuli, Makindye.

Mu kkooti yaleeta abantu 7 okuli

Omubaka omukyala ow’e Namutumba Naigaga Mariam.

Omubaka mu Palamenti ya East Africa James Kakooza

Omubaka w’e Kiboga East Dr. Kefa Kiwanuka

Eyaliko Ambasadda wa Uganda mu ggwanga lya Brazil Paul Mugambwa Ssempa

Omusuubuzi ate nga mukwano gwa Minisita Lugoloobi Martin Ssekajja

Katikkiro mu bwa Kyabazinga Joseph Muvawala ne

Ssentebe wa NRM e Kayunga Kaliisa Kalangwa Moses, era buli omu asabiddwa ssente obukadde 100 ezitali za buliwo.

Minisita Lugoloobi era agiddwako paasipooti era alagiddwa okudda mu kkooti nga 2, Ogwomukaaga, 2023.

Minisita oluyimbuddwa, abantu be batandikiddewo okuyisa ebivvulu era Poliisi ku kkooti, ewaliriziddwa okubasindikiriza, nga bagezaako okutaataganya emirimu gya kkooti.

Mu kiseera kino, Baminisita 3 abakatwalibwa mu kkooti ku misango gy’okubba amabaati g’e Karamoja omuli Minisita w’e Karamoja Mary Goretti Kitutu, eyayimbuddwa sabiiti ewedde, Lugoloobi, ssaako ne Minisita omubeezi ow’e Karamoja Agnes Nandutu, eyasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira olunnaku olw’eggulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-Ntix8Cdz1A&t=12s