Poliisi y’e Kiteezi mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte omuvubuka Derrick Wasibire myaka 20 ku misango gy’okusobya ku bebbi mwaka gumu (1).

Wasibire nga mutuuze w’e Makerere – Kikoni talina mulimu mutongole wabula kamyufu w’amazzi mu bitundu bye Makerere.

Okunoonyereza kulaga nti Wasibire yabadde afunye omulimu gw’okuddabiriza amazzi mu maka g’omu ku batuuze mu bitundu bye Kiteezi mu zzooni y’e Bbumbu e Kasangati.

Kigambibwa Wasibire yalagiddwa okuyingira mu nnyumba okuddabiriza amazzi agaabadde gafunye obuzibu.

Awonye emiggo

Wadde ssemaka yabadde mu nnyumba ne Wasibire, yafunye essimu era amangu ddala yafulumye ennyumba okutambuza emirimu gye ku ssimu.

Wasibire yalabiriza ssemaka ng’ali ku ssimu, okuyingira mu kisenge ky’abaana gye yasaanze omwana mwaka gumu era bwatyo namusobyako.

Maama w’omwana yakutte Wasibire lubona ng’asobya ku mwana we bwe yabadde agenze mu kisenge okuyonsa.

Omwana yabadde ali mu maziga nga yenna atonnya musaayi era amangu ddala maama yakubye enduulu, okusaba obuyambi.

Mu kiseera nga maama akuba enduulu, Wasibire yasobodde okudduka okwewala ebiyinza okuddako kuba yabadde eyinza okufuna emiggo gy’abatuuze.

Wadde Wasibire yabadde agezaako okudduka, Poliisi yasobodde okusuula enkesi era bwatyo yakwatiddwa ne bamutwala ku Poliisi y’e Kiteezi.

Pelani Businge, akulira Poliisi y’e Kiteezi agamba nti bebbi asindikiddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi n’okufuna alipoota y’abasawo, okusobola okutwala Wasibire mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=MOBBI5GWL3Q

Bya Nakimuli Emilly