Mu kiseera ng’eggwanga likyebuuza ani yasse abadde omuntu w’abantu, Pulezidenti abadde akulira ba bulooga mu Uganda Ibrahim Tusubira abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxess oba Jajja Ichuli, naye taata alaze nti ddala taata.
Ku mikolo gy’okuziika Olaxess ku kyalo Katwe e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Mukono, abantu bazze mu bungi ddala omuli abayimbi, bannakatemba, bannabyabufuzi ssaako n’abantu abavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Abakungubazi


Abamu ku betabye mu kuziika kuliko omuyimbi Bebe Cool, Dr. Jose Chameleone, omubaka w’e Kawempe North Muhammad Ssegirinya, Kampala Central ow’e Muhammad Nsereko akulembeddemu okubuulira, Tamale Mirundi, Frank Gashumba, n’abantu abalala.
Wadde abakungubazi boogedde ku nsonga ez’enjawulo omuli n’okusaba ebitongole ebikuuma ddembe (Poliisi n’amaggye) okunoonya abatemu, nate okuziika mubaddemu ebyobufuzi wakati w’abawagizi b’ekibiina ki NUP ssaako n’abo, ab’ekisinde kya MK Movement, abagamba nti mutabani wa Pulezidenti Yoweri Museveni, Gen.Muhoozi Kainerugaba ye Pulezidenti addako.

Taata w’omugenzi


Wakati mu nyiike taata w’omugezi, ategerekeseeko erya Kasajja, ayitiddwa okwogerako eri abakungubazi.
Abakungubazi babadde balowooza agenda kuwanda muliro wabula bw’akutte akazindaalo ate abadde wanjawulo nnyo mu bigambo bye.
Taata agambye nti Katonda yamuwa mutabani we era asobodde okumu twala.

Omugenzi Isma Olaxess


Asobodde okusiima abantu ab’enjawulo omuli sipiika wa Palamenti Anita Among, omugagga Hamis Kiggundu asobodde okuyamba ku ntekateeka zonna ez’okuziika mutabani we, mutabani wa Pulezidenti Gen. Muhoozi n’abalala.
Era agambye nti omugenzi okuleeta abantu abangi, kabonero akalaga nti ddala abadde muntu w’abantu.

Eddoboozi lya Taata

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nkkYqO86_Ms