Ibrahim Tusubira abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxess oba Jajja Ichuli.
Abadde musajja ayogera ku nsonga ez’enjawulo eziri mu ggwanga omuli eby’obufuzi, abayimbi era abadde agamba nti ye talina kyatya.
Isma Olaxess tamanyikiddwako bingi bimukwatako naye yali musajja awangalira mu ggwanga lya Sweden.
Kigambibwa okudda mu Uganda, yali talina biwandiiko bimukkiriza kubeera mu Sweden.
Mu mwezi gwa July, 2021, omugagga w’omu Kampala Hamis Kiggundu yamuwa emmotoka ekika kya Toyota Hiace emanyikiddwa nga Drone namba UBK 213D olw’okumusiima emirimu gye kyokka mwe bamutidde.

Olaxess baamukubye amasasi


Ebiriwo, biraga nti Isma Olaxess yazaalibwa mu 1970 wabula kigambibwa afudde talina mwana yenna ku nsi.
Bwe yali mu kkanisa ya The Worship House Ministries e Nansana ewa Pasita Wilson Bugembe, Isma Olaxess yawa ensonga lwaki talina mwana.
Agamba nti mu ddwaaliro, abasawo bamwekebejje era ne bamutegeeza nti wadde talina bulwadde bwonna, amazzi g’ekisajja manafu nga yali tasobola kuzaala mwana yenna.
Olaxess abadde Pulezidenti wa Uganda Bloggers Association okuva 2021.
Yakomawo mu Uganda mu 2015 oluvanyuma lw’emyaka egisukka mu 10 ng’ali mu ggwanga lya Sweden.
Abadde musajja musiizi wa langi ku mayumba ate abadde musajja muzinnyi nga buli wikendi alina okugenda mu kiraabu.
Ebiriwo byonna biraga nti ayinza okuziikibwa olwaleero ku Ssande ku kyalo Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Mukono.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU