Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among akangudde ku ddoboozi ku nneyisa ya bannayuganda ku bantu abafudde oba abattiddwa.
Sipiika Among agamba nti abantu begumbulidde okusanyuka n’okuyisa ebivvulu nga waliwo omuntu afudde oba attiddwa, ekintu ekiraga obuswavu.
Agamba nti si kya buntu, omuntu yenna okusanyuka nga waliwo famire eri maziga olw’okufiirwa omuntu waabwe.

Sipiika Among abadde mu Palamenti nga basiima emirimu gya Charles Okello Macodwogo Engola, abadde Minisita omubeezi ku nsonga z’abakozi, eyattiddwa wiiki ewedde ku Lwokubiri.

Minisita Engola yakubiddwa amasasi omukuumi we Private Wilson Sabiiti kyokka oluvanyuma naye yeekubye essasi mu mutwe.
Ate ku nsonga z’okutta Ibrahim Tusubira abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxess oba Jajja Ichuli, sipiika Among era abadde mukambwe nnyo.

Isma Olaxess yattiddwa mu kiro ku Lwomukaaga e Kyanja okumpi n’amakaage nga yakubiddwa amasasi ng’ali mu mmotoka ekika kya Takisi ‘Drone’ namba UBK 213D.
Agamba nti kiswaza abantu okutta banaabwe ate nga ffena tulina okufa.
Among alemeddeko nti ebikolwa eby’okutta abantu, kikolwa kya butitiizi, kwe kusaba bannayuganda okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.
Agamba wadde abantu bayinza okwawukana mu ndowooza mu by’obufuzi oba eddiini, kikyamu okutta omuntu yenna kuba tewali muntu yenna alina ddembe lya kutwala bulamu bwa muntu yenna.
Akangudde ku ddoboozi era agamba nti tewali muntu yenna alina kuttibwa wadde okweyambisa emmundu okutwala obulamu bw’omuntu yenna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d_YHpnqSRUU