Embwa zonna mu maserengetta g’eggwanga erya Bufalansa, zigenda kugibwako Ndaga Butonde, kiyambeko mu kutumbula obuyonjo.
Okusinzira ku meeya w’ekibuga Beziers, Robert Menard, embwa zisukkiridde okumansa obukyafu, ekiremesa abantu okweyagala.
Mu tteeka, buli muntu yenna ng’alina embwa, alina okugitwala ku DNA n’okuwa abakulembeze ebiwandiiko ebivudde ku DNA.
Abali ku ddimu ly’okuyonja ekibuga, singa basanga obukyafu bw’embwa, bakweyambisa ebiwandiiko bya DNA okuzuula nannyiniyo.
Nannyini mbwa, wakugibwako fayini ssente 494,800.
Meeya agamba nti buli mwaka, ekibuga kibadde kikozesa abantu abasukka emitwalo 7 okulongoosa obukyafu bw’embwa n’okusasaanya obukadde obusukka 400 mu kulongoosa ekibuga.
Olunnaku, babadde bayoola obukyafu bw’embwa ezisukka mu 1,000.
Bannanyi mbwa baweereddwa emyezi 6 okutwala embwa zonna ku DNA oluvanyuma etteeka, liteekebwe mu nkola.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gB5TgMYFHRU