Poliisi y’e Luweero etandiise okunoonyereza ku bya ssemaka okwetta.
Ssemaka Denis Ssuna myaka 36, abadde mutuuze ku kyalo Kawangalo mu ggoombolola y’e Makulubita.
Okusinzira ku Sam Twineamazima, akola ng’omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, agamba nti Poliisi okuva e Bombo n’ekitebe kya Poliisi e Luweero, bayingidde mu nsonga ezo okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Okunoonyereza kulaga nti Ssuna yavudde mu Kampala oluvanyuma lw’obutakaanya ne mukyala we Nawaigo olw’ensonga etamanyiddwa.
Kigambibwa Ssuna abadde yembulidde okunywa enjaga, ekyamutabudde ne mukyala we.
Poliisi egamba nti wadde mu kusooka omukyala yasobodde okumutaasa, Ssuna yasobodde okufuna omuguwa omulala okwetta.
Wakati mu ntiisa, Poliisi yafunye essimu okuva eri ssentebe w’ekyalo Kawangalo Kiberu Elukana nti waliwo omusajja eyesse.
Twineamazima agamba nti wadde omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Luweero, okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekyavuddeko Ssuna okwetta, kuli mu ggiya nnene.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=EWwOGsXzjGg