Kyaddaki  omuyimbi Wycliff Tugume amanyikiddwa nga Ykee Benda abotodde ebyama, akooye okulya mu nzikiza.

Ku myaka 31 Ykee Benda  y’omu ku bavubuka abalabika obulungi mu kisaawe ky’okuyimba era y’omu ku bayimbi abayimba obulungi ennyimba z’omukwano ekyongedde okusikiriza abaana abawala mu ggwanga lyonna.

Ezimu ku nyimba za Ykee  ezikyamula abawala kuliko  Byonkola, Superman, Singa, Nkufeelinga,  n’endala ez’omukwano.

Newankubadde enyimba  z’omukwano aziyimba bulungi, abadde tannavaayo mu lwatu okulaga nti ate n’ensonga z’omukwano kafulu nnyo.

Mu mwaka gwa 2021 Ykee yasobola okwawukana ne muganzi we Julie Batenga nga yali yakazaala omwana.

Mu kiseera nga Ykee anoonya omukyala omutuufu, amawulire galaga nti abadde afuna okusoomozebwa olw’abawala abangi abamwegomba n’okwetega nga balowooza ayinza okubaganza.

Ku Valentine y’omwaka guno 2023, Ykee yasobola okweyambisa omukutu ogwa Facebook okuvaayo okwebaza kabiite we ategerekeseko nga Emilly okumuwa ekirabo kye ssaawa egula ssente 10,800,000 (USD 3000).

Ykee  okwongera okulaga nti ddala yafunye omuwala ow’ebirooto bye  ng’ayita ku mikutu gye gi mugata bantu naddala Facebook ne Instagram  agamba nti Emilly(EMZ)  alina laavu, atya Katonda ate mukakamu.

Mu bigambo bye, agamba nti, “We spend our entire lives looking for that one thing or person that gives you purpose, a person you want to wake up to and tell all your troubles and all your wins….a woman who loves God and treats everyone with kindness…your heart is just too pure….I celebrate you today and every other day. I LOVE YOU EMZ“.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TOU-yLBV3hM

Bya Nakimuli Milly