Stella atabukidde omusajja mu loogi

Omuwala atabukidde omusajja mu loogi (amannya gasirikiddwa), okutabula omukwano gwe omukadde kyokka nga talina ‘work’.

Omuwala ategerekeseeko erya Stella avudde mu mbeera olwa muganzi we okumutwala mu loogi ekiro kiramba kyokka yabadde mu kwebaka okutuusa kumakya.

Stella agamba nti mutuuze w’e Kajjansi mu Wakiso agamba akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Robert yamukubidde essimu era yamuwadde ekirowoozo ng’asaba omukwano kyokka nga balina kugenda mu loogi.

Agamba nti yavudde awaka ku ssaawa nga 2 ez’ekiro okugenda ne Robert mu loogi mu bitundu bye Kibuye omulundi gwe ogwasoose okugenda ne Robert okusinda omukwano.

Nga batuuse mu loogi ku ssaawa nga 4, Robert yalaze nti kafulu mu nsonga z’okusinda omukwano.

Mu kusooka, Stella yawadde Robert ebyalo kyokka mu ddakika 2 zokka, Robert yabadde avudde mu kazannyo.

Stella agamba Robert yagudde ku buliri era yeebase okutuusa kumakya nga tewali kuddamu kusinda mukwano wadde okugikwatako.

Ng’omukyala omulala yenna, Stella avudde mu mbeera enkya ya leero ku loogi, Robert okumwonoonera ebiseera nga munafu mu nsonga z’okusinda omukwano.

Agamba nti abadde alina omulenzi nga mulungi nnyo mu nsonga z’okusinda omukwano kyokka olwa Robert okulaga nti alina ku ssente n’okulaga nti afaayo, y’emu ku nsonga lwaki yasuddewo omulenzi we, okuwa Robert omukisa.

Afulumye ekisenge kya loogi ng’atabukidde Robert nti wadde musajja naye talina kyasobola mu bintu bya mukwano.

Ku ssaawa nga 12 ez’okumakya, asobodde okufuna bodaboda okudda awaka e Kajjansi nga n’omusajja Robert asobodde okuvuga emmotoka ye ekika kya Subaru Forester okudda awaka.

Omu ku bakozi ku loogi, (amannya gasirikiddwa) agamba nti mu kasenge ka loogi, temubadde kondomu yonna, ekiraga nti Robert yalidde mutwe mu ddakika 2 ne Stella.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=WKDY3gFZsCM