Muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba alaze nti vidiyo z’obuseegu okufuluma ng’ali ne muganzi we omuyimbi Rickman Manrick, zamukosa nnyo mu bulamu.
Oluvanyuma lwa vidiyo okufuluma, buli muntu yasigala yebuuza ani yakikoze?

Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza, Sheilah asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Snap Chat’ okulaga ebintu byabadde asinga okutya mu kutambuza obulamu.
Agamba nti abadde atya nnyo okufa n’obutambi bwe obw’obuseegu era abadde akola buli kimu, okutangira obutambi okufuluma.

Ku Snap Chat, agamba nti obutambi okufuluma, kabonero akalaga nti buli kimu kisoboka era kati talina kutya kwonna.

Mungeri y’emu agamba nti buli kye yetaaga okukola ku nsi akikoze era kati talina kutya kwonna mu bulamu.
Mu bigambo, agambye nti, “I have always been scared of two things
1.My private videos leaking
2. My death and those I love.
So one is done and am here to tell you that death doesn’t scare me!!
I have already done what I wanted to do since I was born!!!”.
Ebigambo bye, biraga nti talina kutya kwonna eri kitaawe Gashumba wadde musajja tanyigirwa mu ttooke.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RHgMxz6Pmvk
Bya Nakimuli Milly