Abakulembeze mu ssaza lye Lagos mu ggwanga erya Nigeria basabye ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko omuyimbi Ilerioluwa Aloba abadde amanyikiddwa nga MohBad okufa.
MohBad myaka 27 yafudde wiiki ewedde mu kibuga Lagos bwe yabadde atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.
Okufa kwa MohBad wiiki ewedde ku Lwokubiri, kwavuddeko bangi ku bawagizi be ne mikwano gye okwebuuza ekyavuddeko omuntu waabwe okufa nga banoonya obwenkanya.
Nga basinzira ku mukutu ogwa X (Twitter) balangiridde kampeyini ‘#justiceformohbad’, Poliisi okunoonyereza okutegeeza eggwanga ekituufu ekyavuddeko okufa kw’omuyimbi waabwe.
Okuva wiiki ewedde, abantu bazze bekalakaasa nga betaaga okumanya, MohBad yafudde ki?
Mu kiseera kino Gavana wa Lagos Babajide Sanwo-Olu asabye abantu okukakana, okuwa Poliisi akadde okunoonyereza era singa wabaawo omuntu yenna alina omukono mu nfa y’omuyimbi, balina okumutwala mu kkooti, “I have instructed that all those who may have played any role whatsoever in any event leading to the death of MohBad be made to face the law after a thorough investigation”.
Gavana Sanwo-Olu agamba nti bafunye ttiimu y’abasirikale 13 okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Abawagizi, bagamba nti omuyimbi waabwe MohBad kiteeberezebwa nti yakubibwa, ekyavaako okufa kwe.
MohBad abadde alina ennyimba ez’enjawulo omuli Peace, Beast and Peace, Ask about Me, Piriwo, Feel Good, Account Balance n’endala.
Ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=RY0UDeDxRes