Obunkenke bweyongedde mu ggwanga erya Libya mu kibuga Derna olw’abatuuze okweyongera okwekalakaasa.
Okuva wiiki ewedde, abatuuze bali mu maziga olw’abantu abali mu 4,000 okufa, abasukka mu 10,000 tebalabikako olw’amataba.
Amataba gavaako amayumba mangi okusigala ku ttaka, amassomero, amalwaliro, enguudo okwonooneka nga bangi ku batuuze betaaga obuyambi.
Wabula abatuuze mu Derna bagamba nti abantu abangi okufa, kyava ku ddaamu z’amazzi 2 okwabika nga zaali zikadiye nnyo kyokka nga tewali kuddabiriza wadde emu.
Mungeri y’emu bagamba nti abakulembeze baalemwa okutegeeza abantu okusenguka okwewala amazzi ga ddaamu okubatta.
Mu kiseera kino bangi ku batuuze bakyasobeddwa nga balina okunoonya abantu baabwe era y’emu ku nsonga lwaki baavudde mu mbeera okwekalakaasa.
Olunnaku olw’eggulo, bakungaanidde ku muzikiti gwa Landmark Sahaba Mosque mu kibuga Derna era okuva ku muzikiti, kwe kulumba amaka ga meeya w’ekibuga Derna Abdulmenam al-Ghaithi.Amaka gakumiddwako omuliro abekalakaasi ng’abatuuze bagamba nti meeya obutafaayo y’emu ku nsonga lwaki bafiiriddwa abantu baabwe.
Mu kiseera kino bangi ku bakulembeze baliira ku nsiko nga batya abantu okubalumba.
Okunoonya emirambo kukyagenda mu maaso mu bitundu ebyakoseddwa.
Bukya Muammar Muhammad Abu Minyar al-Gaddafi attibwa abazungu mu October, 2011, Libya terina mirembe nga balina Gavumenti ez’enjawulo, bali mu ntalo era bangi ku bannansi battiddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RY0UDeDxRes