Bwiino avuddeyo, wuuno omukulu mu Poliisi Komanda wa Bakifeesi

Poliisi erabudde bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) ettabi lye Katonga, okuleeta obujjulizi naye bakooye abantu okusiiga ekitongole kya Poliisi enziro.
Olunnaku olw’eggulo, omwogezi w’ekibiina ki FDC era omubaka wa Monisipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, yatabukidde ekitongole kya Poliisi, okuleeta bakifeesi abaakuba abantu baabwe e Busabala ssaako ne Katonga, abaali bayitibwa mu ttabamiruka w’ekibiina, wiiki ewedde ku Lwokubiri nga 19, September, 2023.

Ssemujju Nganda, agamba nti Bakifeesi, bakulemberwa Brig Christopher Ddamulira, akulira Crime Intelligence ng’omulimu gwabwe kubba n’okunyakula amassimu ssaako n’okutimpula abantu emiggo.

Ssemujju

Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire e Katonga olunnaku olw’eggulo, Ssemujju yalabudde abantu ku bakifeesi ba Brig. Ddamulira kuba beyongedde obungi mu ggwanga era kati bagenda kutandiika okulumba abantu ku mikolo.
Agamba nti e Busaabala ne Katonga wiiki ewedde, Bakifeesi benyigira mu kubba ebintu by’abantu n’okukuba abantu nga Poliisi ekola kimu kubawa bukuumi.

Onyango


Wabula Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, alabudde Ssemujju ne banne mu FDC okuleeta obujjulizi, okusinga okutambuza olugambo.
Onyango agamba nti okuva wiiki ewedde, Poliisi tennafuna musango gwonna oba waliwo omuntu yenna agamba nti yabibwako essimu oba yakubibwa.


Agamba nti Ssemujju bw’aba alina obujjulizi nti ddala Poliisi yeenyigira mu kubba abantu n’okubakuba, alina okuvaayo okuyambako Poliisi mu kunoonyereza okusinga okumala gatambuza ebigambo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=wlQ0ZjGOhYw