Omusajja atabukidde muganzi we okuleeta omusiguze mu nnyumba mu bitundu bye Kyebando mu Kampala.
Omusajja ategerekeseeko erya Mike ng’avuga Takisi agamba nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yafunye omulimu ng’alina okutwala abantu mu bitundu bye Semuto, Nakaseke nga yabadde alina okusulayo.
Ku ssaawa 1 ey’akawungeezi, Mike yakubidde mukyala we essimu, okumutegezaako nga bw’atagenda kudda waka.
Wabula ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, Mike agamba nti yafunye okulumizibwa mu lubuto n’omutwe nga tasobola bulungi kuvuga mmotoka, okutwala abantu e Semuto.
Yafunye mukwano gwe, okutwala abantu ng’alina okudda awaka okuwumula.
Okutuuka awaka ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, nga mukyala we, ali mu kusinda mukwano n’omusajja omulala omusiguze.
Mike agamba nti mu kusooka, omukyala yabadde atidde okuggulawo oluggi era yasobodde okuyamba omusiguze okudduka ng’ayita mu mulyango gwe manju.
Wakati mu kulwanagana Mike n’omukyala, neyiba yakubye enduulu eyasombodde abatuuze okutaasa embeera era omukyala yataasiddwa nga yenna atonnya musaayi mu kamwa.
Wadde balina abaana 2 okuli myaka 4 ne 2, Mike yagobye omukyala era wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti tayinza kudda mu makaage.
Abatuuze wakati mu kusakaanya, batabukidde omukyala okudda mu bwenzi, okuleeta omusajja mu nnyumba ya bba, kye bagamba nti kiswaza era alina okwetonda.