OH NO! Abadde aliira ku nsiko akwatiddwa, asaangiddwa ne Pulaani y’okwokya Kampala

Poliisi y’e Kira ekutte omusajja Lavara Nyanza agambibwa okuba omutujju w’akabinja ka Allied Democratic Force-ADF.
Nyanza musajja munnansi wa Congo era mu kiseera kino akuumibwa ku Poliisi y’e Jinja.
Yakwatiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga kivudde ku batuuze okutemya ku Poliisi.
Mu kukwatibwa, ebitongole byokwerinda byamukutte n’amasasi 2 n’ebiwandiiko eby’enjawulo ebiraga amassomero, offiisi za Gavumenti n’ebifo ebirala, ebibadde bigenda okubibwa.
Okusinzira ku biwandiiko bya Poliisi, Nyanza yayingira obutujju bwa ADF ku myaka 5 era asobodde okukola mu dipatimenti ez’enjawulo okutuusa lwe yafuna omulimu gw’okufumbira abatujju emmere emyaka egisukka 20.
Ku Poliisi, agamba nti yasindikibwa mu Uganda okunoonya ebifo ebigenda okukubwa nga tumalako omwaka era bwe yatuuka mu Uganda, yasooka kubeera Kasese.
Atambudde ebifo eby’enjawulo omuli ekibuga Mbarara, disitulikiti y’e Mukono okutuusa lwe bamukwatidde mu kibuga Jinja.
Agamba wabaddewo entekateeka y’okukuba ekibuga Jinja ssaako n’ebitundu bye Busia.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti Nyanza abadde anoonyezebwa kuba y’omu ku bantu aboobulabe.

OH NO! Abadde aliira ku nsiko akwatiddwa, asaangiddwa ne Pulaani y’okwokya Kampala

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LWZ1leQ_3jc