Omuvubuka asse omuyizi wa Yunivasite mu bukambwe
Ekiyongobero kisaanikidde abatuuze ku Mosque Zone e Kibuli, Makindye mu Kampala oluvanyuma lw’abavubuka abaludde nga bali mukwano, okufuna obutakaanya ne betta.
Abesse kuliko Senkungu Arnold myaka 24 ng’abadde musazi wa nviiri ne Atwine Shina myaka 21 ng’abadde muyizi ku Yunivasite.
Enkya ya leero, neyiba Sserunjoji Frank yakedde okwekengera omusaayi okuva mu nnyumba.
Okuyita abatuuze ne Poliisi okumenya oluggi, amaaso gatuukidde ku mulambo gw’omuwala Shina mu kitaba ky’omusaayi ng’omuvubuka Senkungu ali mu mbeera mbi.
Omuvubuka Senkungu abadde alina ebiwundu eby’enjawulo era afiiridde mu ddwaaliro e Kibuli ate omuwala Atwine abadde yafudde dda.
Atwine asangiddwako ebiwundu ku nsingo nga mu nnyumba mulimu akambe akapya okuli omusaayi.
Ekivuddeko ettemu tekimanyiddwa wabula mu nnyumba musangiddwamu omwana waabwe ali mu myezi 7.
Emirambo, gisindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti ekivuddeko ettemu, n’okutuusa kati tekimanyiddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=PdS–vFF3_M