Aba bodaboda bekozeemu omulimu ne bekalakaasa ne baggala oluguudo oluva e Kampala okudda e Jinja ku kyalo Lwanyonyi mu ggoombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, nga bawakanya enneyisa ya Poliisi.

Aba bodaboda, bagudde ku musajja nga yakubiddwa ennyondo ku mutwe ssaako n’okumutematema omutwe nga yetaaga obujanjabi.

Omusajja eyatemeddwa mu kiro, yeewaludde okuva mu nsiko, okudda ku kkubo, okufuna obujanjabi, nga kiraga nti avuga bodaboda.

Okuyingira akasiko, nga kiraga nti waliwo ensitaano, nga yatemeddwa wakati mu kulwanagana.

Wabula ekitabudde aba bodaboda, waliwo abasirikale abasoose okutuuka kyokka balemeddwa okuleeta emmotokka okutwala omusajja mu ddwaaliro, nga bakoze kimu kuba bifaananyi, omusajja eyatemeddwa ne batambula ne bagenda.

Nga wayise eddakika eziri 50, nga Poliisi eremeddwa okuleeta emmotoka okutaasa omusajja okumuddusa mu ddwaaliro, aba bodaboda bekozeemu omulimu ne bekalakaasa ne baggala oluguudo nga tewali mmotoka yonna ekkirizibwa kusala.

Wakati mu kwekalakaasa, Poliisi etuuse ne kabangali ne bateeka omusajja wansi gye basibira abantu okumuddusa mu ddwaaliro ekkulu e Mukono ng’ali mu mbeera mbi.

Wadde atwaliddwa mu ddwaaliro okutaasa obulamu, abamu ku batuuze, basabye ekitongole ekya Poliisi okufuna Ambyuleensi, zebayinza okweyambisa okutwala abantu malwaliro abali mu mbeera embi okusinga okubatwalira mu mbeera ate eyinza okubatta obussi.

Ebirala ebifa mu ggwanga mu Uganda- https://www.youtube.com/watch?v=LO0tuo6itYc