Omuyizi wa Yunivasite ekubiddwa amasasi agamutiddewo ate omulala addusiddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi mu ggwanga lya South Africa mu kibuga Johannesburg.
Poliisi egamba nti waliwo bamukwatammundu abasse abasajja babiri (2) mu Pakingi y’emmotoka.
Abayizi bakubiddwa amasasi, bbaasi yaabwe bwe yabadde eyita mu kifo awali amasasi.
Poliisi egamba nti mu kiseera kino, tennakwata muntu yenna.
Mu South Africa, ettemu ly’emmundu lyeyongedde era bangi ku bannansi bagamba nti likolebwa n’emisana.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga lya South Africa, Col Dimakatso Nevhuhulwi, abatemu badduse bakyaliira ku nsiko.
Col. Nevhuhulwi agamba nti Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya abatemu n’okulaba nti omwana ali mu ddwaaliro, afuna obujanjabi, okusobola okutaasa obulamu.
Abamu ku batuuze bagamba nti abatemu baasobodde okweyambisa emmotoka enjeru, okudduka okuva mu kifo.
Ate omwogezi wa Poliisi mu kibuga Johannesburg Xolani Fihla, agamba nti ekigendererwa ky’abatemu, tekimanyiddwa mu kiseera kino.
Mu South Africa, wakati wa July ne September, 2023, abantu abali mu 34 baali battibwa buli lunnaku nga bakubwa amasasi, okusinzira kw’alipoota ya Poliisi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=30FM8gA7qaw