Poliisi evuddeyo ku bigambo ebiri mu kutambula ku mikutu migatta abantu, ebiraga nti omusajja waabwe Joel Ntabu, yakulemberamu okuddumira akabinja k’abasirikale, okutulugunya abakwate abali bakwatiddwa nga 23, July, 2024, bwe baali bakwatiddwa mu kwekalakaasa okwali mu Kampala mu kampeyini y’okulwanyisa enguzi.
Kigambibwa, ebikolwa eby’okubatulugunya bali CPS mu Kampala era bwiino ayongedde okutambula ku mikutu migata abantu.
Wabula amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire, agamba nti tebagenda kutambulira ku ngaambo z’abantu.
Owoyesigyire asabye abalina obujjulizi, okutwala omusango ku
– Ekitebe kya CID e Kibuli
– Ekitongole ekikwasiza empisa mu kitongole kya Poliisi
– Akakiiko k’eddembe ly’obuntu
Wabula agamba nti ate singa bagaana okuloopa, kabonero akalaga nti abali mu kutambuza ebigambo, bigendereddwamu okusiiga obukyayi n’okusiiga Poliisi enziro.
Owoyesigyire asabye abantu abagambibwa nti batuusibwako embeera embi, okugenda okuloopa kuba okweyambisa emitimbagano, kiyinza obutayamba.
Poliisi egamba nti Ntabu yakulira eby’okunoonyereza ku CPS nga kiswaza abantu okugamba nti yakulemberamu okuddumira eby’okubatulugunya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rqdQHHI22CM