Kikiino ekirwadde ekikambwe ekisse Tamale Mirundi
Munnamawulire Tamale Mirundi afudde mu kiro ekikeeseza leero.
Tamale Mirundi wafiiridde, yabadde omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga z’amawulire.
Omugenzi nga yakulirako eby’amawulira eby’omukulembeze w’eggwanga, afiiridde mu ddwaaliro e Kisubi, mu Kampala ku ssaawa 5:40 ez’ekiro gy’abadde atawanyizibwa ekirwadde ekyekuusa ku mawugwe.
Okusinzira ku ba famire, Tamale Mirundi abadde amaze mu ddwaaliro okusukka omwezi omulamba era abasawo, abalaga nti Tamale Mirundi abadde alina amazzi mawugwe.
Yazaalibwa mu 1964 era afiiridde ku myaka 60.
Mirundi nga tannafa, wakati mu kwogera n’abantu ab’enjawulo eriko engeri gye yasaba omulambo gwe okutambuzibwamu nga guli okusula mu maka gonna 3 ennaku 2 buli maka.
Tamale Mirundi yazaalibwa omukyala Molly Namatovu ne Yowana Mirundi, kyokka kigambibwa ekirwadde ekisse Mirundi kirudde nga kimutawanya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-gcXW-tuZJM&t=7s