Poliisi mu Kampala ezudde ebikwata ku mukyala maneja Agnes Natongo eyatemuddwa ku luguudo lwa Northern bypass ku wiikendi.
Omulambo gw’azuuliddwa mu zzooni ya Kamuli A e Kireka okumpi ne Northern By Pass.
Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti Nantongo abadde maneja w’essundiro ly’amafuta erya Africa Oil e Kireka.
Poliisi egamba nti, Nantongo yasemba okulabwako akawungeezi ko Lwomukaaga ku ssaawa nga bbiri bw eyali ava ku mulimu, wabula ku makya ga Ssande nga 29, September, 2024 nazuulibwa ng’attiddwa omulambo gwe gusuulibwa ebbali w’oluguudo.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nti bongedde amaanyi mu kuzuula abaabadde emabega w’ettemu lino.
Onyango agamba nti balina okuzuula abatemu n’ekigendererwa lwaki Nantongo yattiddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FbWCUsjUOt8&t=1s