Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga, ki Uganda National Examinations Board (UNEB) kifulumizza omuwendo gw’abayizi, abagenda okutuula ebigezo, guno omwaka 2024.
Abayizi 1,320,400 bebagenda okutuula ebigezo mu ggwanga, nga kuliko aba’
P7 – 798,763
S4 – 379,620
S6 – 142,017
Ku bayizi bonna, 698,808 bali mu masomero ga Gavumenti, 621,592, mu masomero g’obwannanyini.
Okusinzira ku ntekateeka, abayizi ba S4 omuli abali ku Kaliculaamu enkadde ssaako n’empya, bagenda kutandika ebigezo
– Ku Lwokutaano nga 11, October, 2024 n’okuteekebwateekebwa (Briefing).
Aba Kaliculaamu empya, bagenda kukola ebigezo okutuusa ku Lwokutaano 8th, November, 2024.
Ate aba Kaliculaamu enkadde, bakole ebigezo okutuusa nga Friday 15th November, 2024.
Ate ab’ekibiina eky’omusanvu (P7), bagenda kuteekebwateekebwa ku Mmande, 4th November, ate bakole ebigezo ku Lwokusatu nga 6 ne Lwokuna nga 7, November, 2024.
Aba S6, bagenda kuteekebwateekebwa nga 8, November, 2024, bakole ebigezo okutuusa nga 6, December, 2024.
Okusinzira ku UNEB, guno gwe mulundi ogusembayo, okuwa abayizi omukisi, okutuula ebigezo ku Kaliculaamu enkadde.
Mungeri y’emu UNEB eweze eky’okweyambisa Bodaboda mu kutambuza ebigezo newankubadde abakulu abakugu, basobole okweyambisa Pikipiki.
Rose Mukasa Nabukenya, omukungu okuva mu kitongole Kya UNEB agamba nti ebigezo birina okutambuzibwa abantu abalina obuvunaanyizibwa ku bigezo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=KzGxqTkeV_o