Olunnaku olwaleero, mutabani w’omugagga Sudhir Ruparelia, Rajiv Ruparelia asiibudde ensi eno.
Rajiv yafa mu kiro ku Lwomukaaga mu kabenje k’emmotoka ku bitaala bye Busaabala ku kuguudo lwa Expressway.
Olunnaku olwaleero, aziikiddwa mu kitiibwa era omulambo gwe gwokeddwa, okusobola okuteeka mu nkola obuwangwa bwabwe obwaba Hindu.
Ku mukolo ogubadde wali e Kololo, gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akiikiriddwa sipiika wa Palamenti Anita Among.
Abalala kubaddeko abagagga b’omu Kampala nga bakulembeddwamu Godfrey Kirumira, eyaliko ssaabaminisita wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi, ababaka ba Palamenti, Omulangira David Wasajja n’abalala.
Pulezidenti Museveni asobodde okutendereza famire ya Ruparelia, okusiga ensimbi mu Uganda kuba basobodde okuyambako mu kutumbula ebyenfuna by’eggwanga n’okuyambako mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Nga Pulezidenti wa Uganda, asobodde okuwaayo amabugo ga ssente obukadde 50.
Omugagga Kirumira agamba nti Rajiv abadde muntu wanjawulo nnyo kuba abadde muntu wabantu, ng’alina omutima oguyamba era eggwanga n’ensi yonna, lifiiriddwa omuntu abadde ow’enjawulo ennyo – https://www.youtube.com/watch?v=TCn8C-HsCDE&t=16660s
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.