Poliisi efulumizza alipoota ku kabenje akaabaddewo akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande ku luguudo lwe Kisoga–Nyenga mu disitulikiti y’e Buikwe.

Akabenje, kabadde ku kyalo Makindu, bbaasi okuva mu Kkampuni ya YY namba UAV 701C, eyabadde eva e Katosi okudda e Jinja bwe yakoze akabenje.

Bbaasi yalemeredde ddereeva, neyefuula emirundu, ekyavuddeko abantu okufa ssaako n’okulumya abawera.

Poliisi ekakasizza nti abantu 3 bebaafudde okuli omwana omuto myezi 6.

Ku bantu 30, abatwaliddwa mu malwaliro, 17 basiibuddwa, ate 13 bakyafuna bujanjabi.

Abali malwaliro kuliko

6 – Mu ddwaaliro e Kawolo

7 – Saint Charles Lwanga, Buikwe

Allan Ssempebwa Okuva mu Minisitule y’enguudo, agumizza abatuuze ku nsonga y’okuddabiriza oluguudo.

Ssempebwa mu ngeri y’emu awanjagidde abalina ebidduka okwewala okuvuga endiima ssaako n’okusoma obupande obuli ku nguudo okusobola okuyambako okwetangira obubenje – https://www.youtube.com/watch?v=TCn8C-HsCDE&t=16661s